
Akulira ekibiina kya DP Norbert Mao awakanyizza eby’okuzira okulonda kwa 2016 nga tewali nongosereza mu mateeka g’ebyokulonda.
Ng’ayogerako eri bannamawulire oluvanyuma lw’okuzzaayo foomu z’okwesimbawo okukwata bendera y’abavuganya, Mao agambye nti ekyabagasse ku bavuganya kwekulaba nti basimbawo omuntu omu mu kulonda sso ssi ate kukuzira.
Mao agamba nti okusaba enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda kusigalewo nga bwebalwanirira n’enkyukakyuka.
Ebigambo bya Mao bizze ng’ab’omukago bakyakubaganya ebirowooza ku kiteeso kya Besigye okuzira okulonda ssinga enongosereza zino tezibaawo.
Bbo ab’ekibiina kya DP bawandiikidde ab’omukago gw’abavuganya nga bagaala bayimirize loodimeeya Erias Lukwago okukozesa obubonero bwaabwe ne langi
Munnamateeka wa DP Samuel Muyizi agambye nti bagaala ensonga eno eteesebweeko ng’ab’omukago batudde ku lw’okusatu luno.
Muyizi agamba nti okutuusa nga Lukwago assizza ekitiibwa mu bukulembeze bwa Norbert Mao, ssiwakukozesa langi zaabwe.