
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze anokoddwayo nga akulembedde mu besimbyewo okumenya amateeka g’ebyokulonda.
Nambooze bamulumiriza okukuba enkungaana ezimenya amateeka n’aggala enguudo, okusussa mu budde obwgerekebwa, okukozesa olulimi oluvuma n’ebirala.
Nambooze bamulumirizza mu lukiiko lwa poliisi n’omuntu wabulijjo olukubiriziddwa akulira eby’okulonda e Mukono.
Kati mukyala Sarah Namugambe agamba bakuyita Nambooze bamutegeeza ku nsonga eno.
Mu nsisinkano yeemu abamu ku besimbyewo batiisizza okukuba akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka lwakulemererwa kukangavvula abamenya amateeka g’ebyokulonda.