
Bannamateka abali ku musango gw’abantu 13 abateberezebwa okutega bbomu ezatta abasoba mu 70 mu Kampala mu 2010 olwaleero lwebasubirwa okuwaayo okuwoza kwabwe okusembayo.
Bannamateeka b’abavunaanwa nga bakulembeddwamu Caleb Alaka bebagenda okusooka okuwaayo ebyabwe olwo abagavumenti abagkulembeddwamu Susan Okalany baddeko.
Ku bavunaanwa kuliko bannayuganda 5, bannakenya 7 n’omutanzania 1.
Bano bavunannibwa kutega bbomu ku Kyadondo rugby grounds ne Ethiopian Village nga era omusango guddamu okuwulirwa oluvanyuma lw’omwezi mulamba.