
Ng’ebula ennaku 24 zokka bannayuganda basuule akalulu okulonda abakulembeze abaggya, abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bakyasaggula buli kasonda okugonza emyoyo gy’abalonzi.
Akutte bendera ya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye yatandise dda okuwenja akalulu mu disitulikiti ye Gomba ng’ayimiridde mu bubuga bwe Mamba, Kifumba ne Kigezi.
Wano Besigye alamusizza ku abalonzi n’abasaba okwetegekera enkyukakyuka ejja okutuukawo okuyita mu kalulu kebanasuula nga bamwesiga
Besigye agenda kuyitako n’emaddu ate akube olukungaana e Kanoni olwo yeeyengoreyo mu disitulikiti ye Butambala.
E Butambala wakukuba enkungaana e Bekesa e Mubulo, Gombe ,Lugala ,Kibibi akomekkereze ne Kabasanda
Yye eyesimbyewo ku lulwe Amama Mbabazi ali Sembabule olwaleero gy’asuubirwa okukuba enkungaana ezitali zimu.
Mbabazi wakuyimirirako mu Kabuga e Lyantonde, ne Kyazanga olwo yeeyongereyo e Sembabule nga wakwogerako n’abantu be Kalububbu ne Mateete.
Mbabazi nno gy’alaga ayaniriziddwa mawulire mabi ag’abawagizi be abasoba mu 900 abasaze eddiiro nebaddayo mu NRM.
Abavubuka bano basinzidde ku ku wooteri emanyiddwa nga Rainbow okutegeeza nti bakooye okubonaboonera obwereere nga nebwebabasiba tebayambibwa
Bakulembeddwaamu Badru Magembe nebalumiriza ba Go-Forward obutasakirira mirimu gyaabwe.
Wabula yye atwala emirimu gya Go-forward e Ssembabule Vincent Kimbugwe agamba nti bino tebibayuuza kubanga era bulijjo babisuubira
Yye Pulezidenti Museveni olwaleero ali Kiryandongo ne Buliisa nga bano ekizibu kyaabweekisinga ttaka eribumbulukuka