
Poliisi ekoze enkyukakyuka mu basajja baayo mu kitongole ky’aboogezi
Abamu ku bakyusiddwa kwekuli ababadde mu mawanga agaliraanye Uganda nga south Sudan ne Somalia nga bakuuma emirembe n’ekibiina ky’amawanga amagatte
Eyali ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Senkumbi atwaliddwa Masaka kati nga y’ayogerera poliisi yaayo.
Eyali amyuka omwogezi wa poliisi Vincent Sekate asindikiddwa Rwizi ate nga Samson Lubega eyali e Busoga kati atwaliddwa Kira era mu bitundu bye Busoga.
Gilbert Bwana ng’ono yatutumuka olw’okukutulugunya Dr Kiiza Besigye akyusiddwa nga kati atwaliddwa ku kitebe kya bambega
Amyuka omwogezi wa poliisi Polly Namaye agambye nti okulondebwa kwa luno kugendereddwaamu kuziba bituli naddala mu wofiisi y’aboogezi.