
Munna FDC era minisita w’ebyenfuna mu gavumenti y’ekisiikirize Geoffrey Ekanya awadde akakiiko k’ebyokulonda essaawa 48 zokka okumulangirira ku buwanguzi bw’obukiise bwa palamenti obwa Tororo North.
Akulira eby’okulonda ku lwomukaaaga y’alangiridde Annette Nyaketcho ku buwanguzi n’obululu 8911 sso nga Ekanya y’afunyeyo 8822 bwokka.
Ekanya yemulugunya nti akakiiko k’ebyokulonda kaasazizzamu ebyavudde mu kulonda okuva mu bifo 2 mu gombolola ye Mukuju sso nga eno gy’asinga obuwagizi.
Agamba y’awandikidde dda akakiiko k’ebyokulonda nga abasaba bagatte obululu obwavudde mu bifo bino olwo balangirire omuwanguzi omutuufu.
Ekanya agamba akyebuuza ku bannamateekabe okumuwabula ku ky’okuzzaako alangirirwe nti yemuwanguzi.
Wabula akakiiko k’ebyokulonda kategezezza nga bwekasazizzamu ebyavudde mu kulonda mu bifo ebibiri oluvanyuma lw’okukizuula nti Ekanya yawerekedde emmotoka ezaabaddemu obululu okutuuka ku disitulikiti gyebabubalira ekitakirizibwa nga n’obubokisi bw’obululu bwabadde buguddwa.