
Akakiiko k’ebyokulonda kagaanye okuteekebwa ku ninga omukago gwa bulaaya okufulumya ebyava mu kulonda pulezidenti ku mutimbagano gwa yintaneti.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa olunaku lweggulo ab’omukago guno bagamba byonna ebyava mubuli kifo webalondera birina okufuluma abalonzi baddemu okubyetegereza wamu n’abo ebesimbawo.
Akulira omukago guno Eduard Kukan akkatiriza nti obwerufu okuva eri akakiiko k’ebyokulonda kyamugaso nyo naddala nga okulonda kwakaggwa.
Kati nga ayanukula, omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba tebalaba mugaso gwakino kubanga foomu zonna okwafulumira ebyava mu kulonda baabiwaayo dda.