W’owulirira bino nga okuwulira omusango ogwawaabwa eyesimbawo ku bwapulezidenti nga awakanaya ebyava mu kulonda Amama Mbabazi kutandise wali mu kkooti ensukulumu e Kololo.
Kati kkooti ewumuddemu eddakiika 30 nga bannamateeka ba Mbabazi n’abapulezidenti Museveni wamu n’akaakiiko k’ebyokulonda bakuteesa ku nsonga ezenjawulo.

Abalamuzi 9 bebagenda bebali mu kuwulira omusango guno nga bakulembeddwamu ssabalamuzi Bart Katureebe, Eldad Mwangusya, Lydia Tibatemwa Jotham Tumwesigye, Esther Kisaakye, Stella Arach Amoko, , Augustine Nshimye, Rubby Opio Aweri,n’omulamuzi Faith Mwondha.
Bbyo byokwerinda binywezeddwa ku kkooti nga abaserikale bayiiriddwa ku kkubo lyonna erigenda e Kololo nga era teri ayitawo okugyako nga bamukebedde ekimala.
Abaserikale abalwanyisa obutujju bakozesa embwa enkonzi z’olusu okukebera .
Twogeddeko n’omwogezi w’essiga eddamuzi Solomon Muyita n’atunyonyola amakulu g’omusango guno.