Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Baraka Obama akkirizza nti ddala yali nsobi okulumba eggwanga lya Libya okumamulako Co Muammar Ghaddafi nga tebamaze kwetegereza binaddirira.
Obama agambye nti kyali kituufu okuyamba abamamulako Ghadafi wabula tebamanya nti ebinaddako byali bibi.
Obama nga wakuwaayo obuyinza eri omukulembeze omuggya mu January w’omwaka ogujja agambye zino zezimu ku nsobi zeyejusa mu kisanja kye nga omukulembeze wa Amerika.
Bukyanga Ghadafi atibwa, eggwanga lya Libya teritebenkelanga olwabamukwata mundu okweddiza eggwanga lino nga kati yentabiro y’abatujju abajojobya ensi.