Abakebera abalwadde b’emitwe mu ddwaliro lye Butabika emirimu gyabwe gisanyaladdemu oluvanyuma lw’ekyuma ekikebera ekya kya X-ray okufa.
Bw’abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyobulamu, akulira eddwaliro lye Butabika Dr. David Basangwa ategezezza nga ekyuma kino bwekitasobola kuddabirizibwa kubanga kiweddeyo.
Agamba baasaba obukadde 400 mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2016/2017 okufuna ekyuma ekirala zebatafunye.
Kati akakiiko kano kasabye ababaka bateeke minisitule y’ebyobulamu ku ninga ebawe ssente zino kubanga bazetyaaga.