Ab’ebibiina ebivuganya gavumenti nabo bakwegatta mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kya sipiika mu palamenti ye 10 .
Aba NRM bebabadde bakesowolayo okuli sipiika aliko kati Rebecca Kadaga n’omumyukawe Jacob Oulanya.
Wabula akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Ogutu agamba nabo nga abavuganya bali mu nteekateeka ezisembayo okuleeta omuntu waabwe yesimbewo.
Wafula aganye okumenya erinya ly’omuntu ono n’ategeeza nti bakumlangirira essaawa yonna.
SOUND: Wafula Speakership…Lug/Eng
Okulonda sipiika kwakukwatibwa nga 19 omwezi guno.