Abantu abali eyo mu 2000 mu tawuni ye Lukaya mu disitulikiti ye Kalungu tebakyalina webegeka luba oluvanyuma lw’amataba okusanyawo amaka gaabwe.
Abasinze okukosebwa batuuze ku mwalo gwe Kamuwunga ne tawuni kanso ye Lukaya nga eno amaka mangi gajuddemu mazzi n’enimiro nyingi zisigadde ku ttaka.
Ssentebe we Kamuwunga Ronald Ssemanda agamba bali mu kutya eno enjala yandibalumba olw’ebirime okusaanawo okusinga ebijanjalo ne lumonde gwebatera okulya.
Abamu ku batuuze ensobi bajitadde ku basima omusenyu abazibye emyaala ekiviriddeko amazzi okuwuguka.
Ssentebe wa disitulikiti ye Kalungu Gerald Majera Kikyamu agamba basobodde okusengula abamu ku batuuze okubatwala e Nabyewanga nga bwebagezaako okuggya amazzi mu mayumba.