Bya Gertrude Mutyaba,
Abantu abaabuzibwako ab’enganda zabwe e Kyotera ku kyalo Kisamula mu town council ya Kyotera mu district ye Kyotera bafunye essuubi oluvannyuma lw’okufuna puliida agenda okubakulemberamu okugenda mu kooti okubanja abantu babwe abaabuzibwawo abagambibwa
okubeera ab’ebyokwerinda.
Kinajjukirwa nti abantu abawerera ddala 18 beebaabuzibwawo mu district ye Kyotera nga 8 omwezi ogwa January omwaka guno.
Alexander Lule okuva mu Xander Company advocates yeyesowoddeyo okulaba
ng’alwanirira abantu asoose ku poliisi e Kyotera okubuuza abasirikale oba bamanyi amayitire g’abantu abaabuzibwayo kyokka ono bamutegeezezza nga bwebatamanyi
Abamu ku bantu abaabulwako ababwe bayungudde amaziga nga balaga obutali bumativu ku ngeri ekibiina ki NUP bwekitabayambye ate nga
abantu babwe baabuzibwawo ku lwabwe.