Bya Abubker Kirunda
Abazigu balumbye owa mobile money nebamubbako obukaddde 2 nomusobyo wali mu Kabuga ke Buwenge e Jinja.
Mukyala Betty Namugaya ngabadde akolera okumpi nakatale ke Buwenge alumbiddwa bwabadde addayo awaka nga babadde abakawataganye nemyambe emyoji.
Poliisi etegezeza nti bamubbyeko obukadde 2 nemitwalo 10.
Omukyala mu kaseera kano ali mu ddwaliro Buwenge ajanjabibwa oluvanyuma lwokukubibwa, nga poliisi egamba nti omuyiggo gutandise.