Bya Shamim Nateebwa
Embeera y’omuyimbi Eva Nakabira amanyiddwa nga Evelyn Lagu eyongedde okweralikirza.
Ono ajiddwa mu ddwaaliro erya Kenrob gy’abadde ajjanjabibwa n’atwalibwa e Kiruddu okwongera okufuna obujjanjabi obusingawo.
Ono yafuna ekizibu ku mutima, ngabasawo bagamba nti tassa bulungi era amaze wiiki 2 ng’ali ku ndiri.
Abasawo bazudde nga n’ensigo ye yafuna obuzibu kyokka abamujjanjaba bagamba ssente z’obujjanjabi zibekubya mpi, beetaaga okuyambibwa.