Skip to content Skip to footer

Olwaleero lunnaku lw’abalumiddwa omusota

Bya Musasi waffe

Olwaleero Uganda egenda kwegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lwabalumiddwa emisota.

Okusinziira ku Dr David Williams, akulira ekitongole ekinonyereza ekya Australian Venom Research Unit ku University of Melbourne, olunnaku luno lwabangibwawo okulaga engeri yokwetangiramu obulebe bwemisota nokumanyisa abantu ku bulabe bwemisota.

Ekitongole kyebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation kigamba nti abantu obukadde 2 nemitwalo 70 ekivuddeko abamu okufa, nabali mu mitwalo 40 nebafunsa obulemu obwoluberera.

Kati wano mu Uganda ebitongole okuli WHO, HEPS Uganda ne Uganda Wildlife Authority bigenda kutuula, abakulu bakanaye kungeri entuufu eyokwekumamu emisota.

Bino byebimu ku bitegekeddwa okukuza olunnaku luno Entebbe.

Leave a comment

0.0/5