Abantu 31 abavunanibwa okutta abakulembeze babayisiraamu okwetolola eggwanga babatuusizza wali mu kkooti enkulu.
Zzo enguudo zonna ezoolekera ku kkooti eno zigaddwa nga era okuyitawo osooka kwazibwa.
Omusango guno gwakubeera mu maaso g’abalamuzi 3 okuli Ezekiel Muhanguzi, Percy Tuhaise ne Jane Kigundu.
Abavunaanwa kuliko akulira abatabuliiki ku muzikiti gwe Nakasero seeka Yunus Kamoga ne muganadawe seeka Kawooya bano nga kigambibwa okuba nti bebakulemberamu olukwe lw’okutta banaabwe.
Bano baakwatibwa oluvanyuma lwokutibwa kwabamaseeka abakukutivu okuli sheikh Abdul Kadir Muwaya, sheik Mustafa Bahiga,sheikh Hasaa Kiraya