Eby’eyali aduumira poliisi ya CPS Aaron Baguma byongedde okwononeka kkooti ya Buganda Road bweyisiza ekibaluwa ki bakuntumye akwatibwe lwakugaana kweyanjula mu kkooti ku misango gy’obutemu.
Kino kiddiridde munnamateeka wa gavumenti Jonathan Muwaganya okutegeeza kkooti nga Bagumabwatanafuna kiwandiiko kyonna kimuyita mu kkooti nga n’ekifo ky’okuduumira poliisi ya CPS yakivaamu dda nga era tamanyiddwako kati mayitire.
Muwaganya anyonyodde nti tebamanyi Baguma waali kale nga ekyetagisa kibaluwa kibakuntumye poliisi ekwate musajja waayo aleetebwe abitebye kubanga kkooti yo temanyi munene.
Kati omulamuzi Jamson Karemani alagidde poliisi ekwate Baguma ono nga telunassuka 1 September 2016.
Baguma ono yeetagibwa okwegatta ku banne abalala 8 abavunaanibwa okutta Donah Betty Katushabe mu October w’omwaka oguwedde nga kuliko ne nanyini kifo kya pine webatundira emmotoka Muhammad sebufu nga mu kiseera kino bali ku alimanda mu kkomera e Luzira.