Akakiiko k’ebyokulonda kakuwereza ebinakozesebwa mu kulonda kwa disitulikiti empya olwomukaaga luno.
Okusinziira ku nteekateeka z’akakiiko k’ebyokulonda okulonda ababaka ba palamenti wamu ne ba ssentebe bazidisitulikiti empya okuli Omoro, Rubanda, Kakumiro, Kagadi ne Kibale baakulondebwa nga 29 August 2016.
ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kigundu agamba abantu baakutandika okuweebwa opupapula obulaga gyebalina okulondera ku lwomukaaga ne ssande .
Agamba okwewala obubbi bw’obululu buli yesimbyewo ajja kukkirizibwa okuteekawo ba agenti 5 mu buli gombolola nga era teli mutunulizi wabyakulonda atali muwandiise ajja kukkirizibwa kutuuka webalondera.