Poliisi ye Matete mu disitulikiti ye Sembabule eriko omusajja ow’emyaka gw’ekutte 40 lwakusobya ku kawalake ak’emyaka 13.
Edward Muyanja omutuuze ku kyalo Kaselutwe y’akwatiddwa ku bigambibwa nti yefudde namunswa kawalake n’akatuuza ku ssesiriiza.
Baliraanwa bategezezza nti Muyanja ono baamuguddeko lubona nga yekakatise ku kawala kano akaabadde kalaajana nebamukuba mizibu nga era poliisi yebamutaasizzako.
Lameck Kigozi nga yemwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda akakasizza okukwatibwa kwa Muyanja nga era wakutwalibwa mu kkooti nga okunonyereza kuwedde.
Wabula bakusooka kumutwala mu ddwaliro akeberebwe oba teyasiize mwana ono siriimu.