Bya Damalie Mukhaye
Ssabapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura talbiseeko mu maaso gakakiiko ke ddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission gyabadde asubirwa okunnyonyola ku nkola ya poliisi nebigambibwa nti batulugunya ababa bateberezebwa okumenya amateeka.
Gen Kayihura, abadde wakulabikakako mu kakiiko nomuddumizi wagye lye gwanga, Gen David Muhoozi nakulira ebitongole ebikessi, Col Abel Kandiho okubaako byebanyonyola.
Kati bwabadde ayogerako ne bannamwulire oluvanyuma lwensisinkano gyebatakiriziddwamu, omu kuba Commissona ku kakiiko Amoti Katabalirwe ategezezza abatazze basindise abasigire songa ssabapoliisi tazze era tatumye.
Katabalirwe kati agamba bagala okunyonyola lwaki.
Akakiko kankatandika okunonyereza ku byekuusa ku kutlugunyanga abasibe oluvanyuma lwebifananyi ebyafuluma ebyalaga mayoa wa town council ye Kamwenge Geoffrey Byamukama, ngafeenya oluvanyuma lwokutwalibwa natwalibwa ku poliisi e Nalufenya nga kiberezebwa nti yoomu ku batta eyali omwogezi w apoliisi Andrew Felix Kaweesi.
Wabula omwogezi wa poliisi mu gwanga Asan Kasingye ategezezza nti ssbapoliisi abaddeko emirimu gyalina okukola olwaleero.
Atubuliidde nti Gen Kaihura abadde yayitiddwa ku ministry yensonga ze bweru we gwanga mu lukiiko olumu.
