Amawulire
Omubaka afudde
Omubaka akiikirira abantu be Buhweju mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga Joy Arinaitwe Kariisa afudde
Ono afiiridde ku ddwaliro lya International hospital mu kampala.
Omubaka ono w’afiiridde nga wa myaka 27
Abadde mu kibiina kya NRM era nga kyekibadde ekisanja kye ekisoose mu palamenti
Abadde atuula ku kakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo n’ako akakola ku nsonga z’ekikula ky’abantu
Ono ye mubaka ow’okutaano okufa mu myaka egitawera n’ebiri okuva ku Micheal Oromait, Cerinah Nebanda, Eriya Kategeya, ne Stephen Malinga