MENGO
Bya Shamim Nateebwa
Kamalabyonna wa Buganda owek. Charles Petere Mayiga alangiridde entekateeka, obwakabaka okuwandiika ku byonna ebikwata ku bika byabaganda 52, bisobole okusomwako nabalijja okubaako byebamanya.
Bweyabaddea ayogerako eri abawandiisi, mu mwoleso gwa Buganda ogwabawandiis nabakubi bebitabo ogusookedde ddala e Bulange-Mengo, Kattikiro yategezezza nti tebatudde waliwo ebikolebwa okukuuma ebyafaayo obuwangwa ne nonno obutazaawa, wakiri bisigale mu buwandiike okubujulizangako.
Ategezezza nti entekateeka eno essaawa yonna ejja kuba ewedde, era banajilangirira.
Ekitabo kino kyakubaamu ebyafaayo, ebyobuwangwa ne nonno, ebikwata ku buli kika, nebiralala.