Bya Ndaye Moses.
Gavumenti ya Uganda esiimye Naggagga , Aga Khan n’omudaali ogusingayo obukulu, mu Africa ogwa, Pearl of Africa medal.
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni yawadde Aga Khan omudaali guno , wamu nebanna-uganda abalala 10
President asiimyye Aga Khan olw’enkulakulana gyagasse ku gwanga okuyita mu by’enjigiriza, ebyobulamu, eby’amawulire n’ebyobusubuzi
Abalala abasiimidwa kuliko Major General Jim Muhwezi, omugenzi Eric Otema Alimadi, Hassana Basajja balaba, nabalala.
Omukulu ono yenyini company eya Nation media group etwala emikutu gy’amawulire daily monitor,KFM, Dembe, NTV nendala mu Kenya Rwanda ne Tanzania.