Bya kato joseph.
Police yakutte abantu abantu 10 mu bikujuko ebya Kampala City festival ebyabadewo akawungezi akayise.
Twogedeko n’aduumira police mu Kampala n’emiriraano Frank Mwesigwa n’agamba nti abaakwatidwa bonna baggalidwa wano ku Cps era nga leero lwebagenda okusunsulibwamu, abamu batwalibwe mu kooti.
Wabula ono awakanyizza ebibadde bigambibwa nti waliwo bus 3 ezijjudde abakwate ez’atwalidwa ku Police ye Naggalama .
Kinajukirwa nti mubikujuko eby’omwaka oguwedde abantu 200 bebakwatibwa
Ono agambye nti abaakwatidwa beebo abaabade bagezaako okumalako abadigize emirembe.
