Bya Damalie Mukhaye
Abakozi abatali basomesa ku matendekero ga gavumenti aga waggulu, batanudde okubanja ministry yebyenjigiriza etukirize byeyabasubiza okubongeza emisaala.
Kinajjukirwa nti gavumenti mu May womwaka gwa 2016 yasubiza bano okubongeza emisaala, oluvanyuma lwakediimo kebalimu akaali kakutte wansi ne waggulu.
Ekisubizo kya gavumenti kyali nti ensimbi obuwumbi 4 nobukadde 300 zakutekebwanga ebbali okukola ku nsonga zaabwe.
Bano baali bakowngezebwangko mu buli mwaka gwebyensimbi.
Kankano embalabe emze ku jjute, kubanga bino bizze ngabasawo, nabawaabi ba gavumenti bakyediimye era babanja misaala.