Amawulire

Abasoba mu 60 bafu, Munnayuganda yoomu ku bakoseddwa

Ali Mivule

September 23rd, 2013

No comments

Kenya attacks

Gavumenti egamba nti waliwo munnayuganda akoseddwa mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kenya ku kizimbe kya WestGate shopping mall

Ekiwandiiko okuva eri minisita akola ku by’amawulire, Rose Namayanja akakasizza kino yadde nga tayogedde bisingawo ku mannya g’omuntu ono, yadde ebimukwatako

Tekitegerekese era ngeri ki omuntu ono gy’akoseddwaamu  nga gavumenti egamba nti yakwongera okuwa amawulire.

Kenya, Chn

BBo abayisiraamu wano mu Uganda bavumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku kizimbe kya Westgate shopping mall  mu ggwanga lya Kenya.

Bannalukalala balumbye ekizimbe okuli edduuka gaggadde   ku lunaku olw’omukaaga  era nga nakati bakyasazeeko ekizimbe.

Omwogezi w’ekitebe eky’obuyisiramu mu ggwanga ekya  Uganda Muslim Supreme Council, Al-Haji Nsereko Mutumba agamba kikyaamu abantu okutta banaabwe nga bekwese mu diini y’obuyisiramu.

Agamba obusiraamud diini ya mirembe era abakoze kino basaana kuvumirirwa.

Bino nga bili biti, bannanyini zi baasi ezitwala abantu e Kenya balagidde kati buli baasi eteekebwemu kamera okusobola okwetegereza buli muntu ayingira baasi zino.

Sentebe w’ekibiina ekigatta bananyini baasi nabagoba baazo Fred Bahati agamba era abagoba ba baasi zino balekera awo okutikka abasaabaze naddala bebasanze ku makubo mu ggwanga lya Kenya naddala mu buvanjuba bw’eggwanga lino kyokka ng’ekikyetaagisa ze Kamera.