Skip to content Skip to footer

Ababaka bakyagulumba na teeka ku myaka gyamukulemebeze wa gwanga.

Bya samuel ssebuliba.

Nate  ne leero ababaka ba parliament bayingidde olunaku olw’okusatu nga bakyagulumba n’ebago ly’eteeka ku komo ku myaka gy’omukulemebeze we gwanga.

Mukaseera kano ababaka ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okunyonyola byebajja mukwebuuza ku balonzi baabwe.

Mubamu kubabaka aboogedde ye Theodro ssekikubo owe Rwemiyaga, nga ono agambye nti parliament tegwana kuwudiisibwa okuwagira ensonga egenda okugassa omuntu yekka.

Ye omubaka we Nakawa Michel Kabaziguluka agambye nti kimuluma okulaba nga kooti eze esaba enkyukyuka mu mateeka g’okulonda, kyoka kati government mukifo ky’okukola kino ezze ku semateeka kumukyusa okugasa omuntu omu.

Mubalala aboogede ye omubaka Alex Byarugaba nga ono akalambidde n’agamba nti situufu nti omuntu bwakadiwa awunga kubanga ne kitaawe wa myaka 80 naye ebintu byakola by’amuvubuka wa myaka 20.

Leave a comment

0.0/5