Skip to content Skip to footer

E Misiri, abajaasi 6 battiddwa

Egypt

Abajaasi ba Misiri mukaaga battiddwa abakwata mmundu ku kifo awakeberebwa abantu mu bukiikakkono bw’ekibuga ekikulu Cairo.

Ab’ebyokwerinda bagamba nti bbomu bbiri nazo zibadde zitegeddwa mu kitundu kino kyokka nga baziteguludde

Bino bizze ng’era waliwo  omujaasi omulala attiddwa mu baasi

Obulumbaganyi mu ggwanga lino bweyongedde okuva omukulembeze eyali mu ntebe Mohammed Mursi amamuulwa ku ntebe.

Leave a comment

0.0/5