Skip to content Skip to footer

Palamenti etandise okunonyereza ku Kadaga ne Namuganza

Bya Moses Kyeyune

Omubaka we ssaza lye Ngora mu palamenti David Abala asabye palamenti, enonyereze ku butakanya obuli wakati womukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga nomubaka we Bukono era minister webye ttaka Persis Namuganza, abesojja obutamala.

Bino webijidde nga Namuganza alabiddwako ngalumba Kadaga mu lujidde.

Kati omubaka Abala asabye omumyuka sa spiikaJacobb Oulanyah nti palamenti egwana eyingire mu nsonga zino.

Oulanyah alagidde kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa okutandikirawo, okunonyererza ku nsonga zino.

Oulanya era alagidde ababaka bewalenga okuyombagananaga mu lijude olwobutakanya bwebalina.

Bino webijidde nga wiiki ewedde ababaka abava mu Busoga basabye Namuganza okumenyawo ebigambo bye kubanga kuno kutyoboola bakulembeze.

Leave a comment

0.0/5