Skip to content Skip to footer

Minisita Byandala asindikiddwa e Luzira

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo
File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo

Eyali minisita w’ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala olwaleero asula Luzira

Byandala asindikiddwa mu kkomera okutuuka nga 11 omwezi ogujja w’anaddira okusaba okweyimirirwa.

Ono nno eyayitiddwa ku ofiisi ya kaliisoliiso okunyonyola ku bikwatagana n’oluguudo lwe Mukono Katosi, tazze waka nga bweyabadde asuubira, bw’atwaliddwa butereevu mu kkooti ewozesa abakenuzi.

Asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Julius Borore amusomedde emisango egyakuusa ku kuvvoola wofiisi ye n’okufiiriza eggwanga ensimbi.

Avunaanibwa wamu n’eyali akulira ekitongole ekikola ku byenguudo ekya UNRA Sebbugga Kimeze, eyali atwala ebyensimbi mu kitongole kino Joel Semugoona n’eyali munnamateeka w’ekitongole kino Marvin Byaryahuna

Omwogezi wa wofiisi wa Kaliisoliiso Ali Muniira ategeezezza nga bwebafunye obujulizi obubayambako okutwala omusango guno mu maaso.

Byandala azze avaayo lunye okutegeeza nti talina musango n’alayira okwaniika abanene abaavuluga omulimu guno.

Leave a comment

0.0/5