Skip to content Skip to footer

Abatujju amasimu bagagula ku Majestic Plaza- musuubuzi

 

File Photo: Ekizimbe ekiteberezebwa okuba nga abatujju bakikoozesa
File Photo: Ekizimbe ekiteberezebwa okuba nga abatujju bakikoozesa

Kizuuliddwa olwaleero nti essimu ebbiri ezaakozesebwa okubalula bbomu mu Kampala zagulibwa okuva ku kizimbe kya Majestic Plaza wano mu Kampala

Zino zaagulwa ng’ebula ennaku bbiri , bbomu zino zitegebwe

Bino byogedde omutunzi w’amasimu ku kizimbe kino Joseph Makubuya ng’ono yeeyatunda amasimu gano eri Hassan Haruna Luyima era ng’agamba nti omusajja ono yamuwa emitwalo 45,000 okumuguza amasimu gano gombi.

Makubuya agambye nti Luyima yamugulako amasimu gano akawungeezi ng’agenda kuggalawo era n’amuguza ate ku bbeeyi dondolo.

Amasimu agoogerwaako kuliko ZT2 eya Kabiriiti ne Nokia 3510 i kyokka ng’omusuubuzi ono agamba omusajja ono teyamuwa alisiiti kubanga yali mu bwangu.

Wabula munnamateeka w’abagambibwa okuba abatujju Caleb Alaka akazizzakasizza omusajja ono  ng’amulumiriza okuba omulimba

Amubuuzizza lwaki teyagabira Luyima alisiiti era n’amaliriza ng’agamba nti omuntu we gwebalumiriza talina ky’amanyi.

Leave a comment

0.0/5