Omukulembeze w’eggwanga lya America Barack Obama akolokose abakulembeze mu Africa abagufudde omuze okumaamira obuyinza.
Obama abadde ayogerako eri abakulembeze ba Africa okuva mu mawanga 54 abakungaanidde mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia.
Ono agambye nti kikwasa ennaku okulaba nti ate abalina ssente beebasinga okukola kino ng’abamu batuuka n’okukyusa mu mateeka okwekkusa.
Awadde eky’okulabirako kya Burundi gy’agambye nti obutabanguko obuliyo kati buvudde ku mukulembeze okwagala okweremeza mu buyinza yadde amateeka googera kirala.
Obama agambye nti yye akimanyi nebweyesimbawo ,abantu basobola okumulonda ate ng’akyaali muto kyokka tasobola kuddamu kwesimbawo kubanga ssemateeka alina okussibwaamu ekitiibwa.
Obama agambye nti yesunga kaseera w’anaviira ku ntebe, nga talina bakuumi basusse, asobola okutambula ku lulwe n’okufuna obudde bwa famire ye.
Bino bizze nga ku ssemazinga wa Africa, abakulembeze abawera mu mawanga agatali gamu bafuuse ba kinvinvi kyokka nga tebalina ssuubi lyenyeenya.