Skip to content Skip to footer

Etteeka ku sigala liyise

Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka eryongera okukaliga abafuuwa sigala.

Ebbago lino kuva mu mwaka gwa 2013 nga litudde.

Etteeka eriyisiddwa liragira abanywa sigala okwewala ebifo byonna eby’olukale nga balina okulekawo mita 50

Abantu abatannaba kuweza myaka 21 tebalina kunywa sigala.

Ebipapula ebibaamu sigala byakubaako ebiwandiiko ebinene ebirabula abantu nti sigala wabulabe era nga teri kumussa ku masa agatuukirwaako mu maduuka mw’atundibwa

Eyakulemberamu okuleeta ebbago lino era nga ye minisita w’ebyobulamu Dr. Chris Baryomunsi agamba nti kyebagaala kumanyisa bantu bulabe obuli mu sigala n’okutaasa abatamunywa era nga ssikumuwera ng’abamu bweboogera.

Agambye nti okuyisibwa kw’etteeka lino buwanguzi eri Uganda era kijja kuyamba nnyo okulwanyisa endwadde ezitasiigibwa nga kokoolo n’endala.

Leave a comment

0.0/5