Eyali minisita w’ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala akwatiddwa.
Byandaala akwatiddwa ku byekuusa ku luguudo lwe Mukono Katosi olwavulugibwa nga kati agenda kuggulwaako misango gya bukenuzi.
Omwogezi wa wofiisi wa Kaliisoliiso Ali Muniira akakasizza okukwatibwa kwa Byandala n’ategeeza nti ono baamuyise okubaako neby’abategeeza kyokka nebasalawo okumutwala mu kkooti.
Byandala azze avaayo lunye okutegeeza nti talina musango n’alayira okwaniika abanene abavuluga omulimu guno