Kkooti mu ggwanga lya Libya esalidde mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddafi ekibonerezo kya kuttibwa.
Saif al-Islam ne banne abalala 8 bakuttibwa olw’emisango egyekuusa ku lutalo mu 2011.
Saif ne banne abalala bavunaanibwa kutulugunya beekalakaasi mu 2011 mu lutalo olwamamulako kitaawe Muammar Gaddafi.
Wabula Saif tabadde mu kkooti mu kiseera webamusalidde ekibonerezo kino nga era akyakumibwa ekiwayi ky’abayeekera Kye Zintan ekyagaana okumuwaayo.
Eyali akulira abakessi mu gavumenti ya Gaddafi Abdallah al-Senousi, naye ali ku kibonerezo kyekimu wamu n’eyali ssabaminisita w’eggwanga lino Baghdadi al-Mahmoudi.