Okwongera okulanga omwenge kitunuuliddwa nga ebimu ku biviiriddeko abaana abatanetuuka okwongera okunywa omwenge.
Akulira ekibiina ekilafubanira enkulakulana mu bavubuka ekya Uganda youth development Link Rogers Kasirye agamba obulango buno busikirizza abavubuka bangi okukeera okunywa omwenge olwo nebegadanga mungeri yekyeyononero olw’ettamiiro.
Agamba wasaana okubeerawo etteeka ekkakali ku baana abanywa omwenge nga tebanetuuka ssaako n’okukoma ku bulango bw’omwenge obusikiriza abatanetuuka okunywa omwenge guno.
Mungeri yeemu omukugu mu by’obulamu professor Monica Swahn ategezezza nga abawala bebasinga okukosebwa mu bikolwa by’okwegadanga olw’ettamiiro.