Bya Ben Jumbe .
Nakakano abatuuze be Jinja East nakakano bakyali mu kujaganya, nga kino kyadiridde akakiiko k’ebyokulonda okulangirira munna- FDC Paul Mwiru, nga eyawangudde akalulu akaakubiddwa olunaku olwajjo.
Mukulonda kuno Mwiru yafunye obululu 6,654 , munne Igeme Nabeeta owa NRM naafuna 5043 , olwo Faizal Mayemba nadako n’obululu 117 .
Bweyabadde ayogerako eri banamawulire amangu dala nga yalangirirwa, Mwiru yatenderaza nyo abalonzi olw’okumwesiga nebamuwa akalulu omulundi ogw’okubiri, era nasubiza okusigala nga abawereza nga omubaka.
Kuno okulonda kwajjawo oluvanyuma lwa kooti okujayo munna NRM igeme Nabeeta, nga bamulanga kwetaba mukubba kalulu.