Bya Samuel ssebuliba.
Government esabiddwa okwanguwa okunonyeereza kungeri ababundabunda, gyebakosezaamu obutonde bwensi mu bifo gyabakunganira.
Bino byogeddwa Moses Mandebo akulira ekibiina ekya Approaches to Rural Community Development ekisangibwa mu Arua, nga ono agamba nti Arua yokka esuza ababundabunda kumpi emitwalo 200,000, kale nga bano kyebakoze kwekusanyaawo obutonde bwensi.
Ono agamba nti bano bukyanga bajja basanyizaawo ebimera byonna, emiti bagitema , ewaali ensiko kati gyebasula, kale nga kino kisemberedde okuteeka ekitundu kino mu katyabaga.
Kati ono agamba nti okwewala emitawana eginaava mukusanyaawo obutonde bwensi okunonyereza kugwana kukolebwe.