Bya Moses Ndaye.
Ebibiina by’obwanakyeewa ebikola kuogwokulwanyisa enguzi bitabukidde akulira banka enkulu ya uganda Proff. Tumusiime Mutebire nga ono bamulanga kugezaako kusoomoza buyinza bwa kalisoliiso wa government
Kinajukirwa nti ebitongole bino byafunye obutakaanya oluvanyuma lwa kalisoliiso wa governmet omukyala Iren Mulyagonja okugezaako okunonyereza ensonga lwaki ono yagobye eyali akulira ekiwayi ekitwala banka nkozi z’amagoba omukyala Justine Bagyenda , ko n’abakozi abalala.
Twogedeko n’akulira ekibiina ekikola ogw’okulwanyisa obuli bwenguzi mu gwanga ekya Anti-corruption coalition Cissy Kagaba n’agamba nti obuyinza bwa kalisoliiso wa government bunene era nga butwaliramu ne Banka enkulu eye gwanga,kale nga ono agwana akirize okunonyerezebwako mukifo ky’okwekangabiriza .