Skip to content Skip to footer

Omu Nigeria talina Ebola

Ebola scare

Omukazi enzaalwa ya Nigeria eyabadde asuubirizibwa okubeera n’ekirwadde kya Ebola kizuuliddwa nti musujja gwansiri gwegwabadde gumuluma.

Omukazi ono y’abadde asesema , nga alumwa omutwe n’obubonero obulala abalina Ebola bwebabeera nabwo.

Akulira guno naguli mu minisitule y’ebyobulamu  Dr.Jane Acheng agamba ono wakuna ku babadde bateeberezebwa okubeera ne ebola okuzuulibwa nti tebalina kirwadde kino.

Dr.Acheng wabula agamba bongedde okwekenenya buli ayingira eggwanga ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe nga okusinga eriiso ejjoji balitadde ku bava mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa.

Leave a comment

0.0/5