Yadde nga olusoma olwokusatu lwaguddewo ku mande mu butongole,abaana b’abanonyi b’obubudamu mu nkambi ye Sango bay bakyali waka.

Kino kiddiridde gavumenti okuggala essomero lyokka elyali mu nkambi bwebategeeza nga ababundabunda bano bwebaali abokutwalibwa mu nkambi endala ekitanaba kukolebwa.
Akulira essomero elyagalwa Richard Ojok agamba abaana 1632 bebolekedde okukosebwa mu nteekateka eno.
Enkambi y’ababundabunda eno emaze ebbanga nga tebafuna buyambi okuva eri gavumenti nga kati mwezi 3 teri kavaayo.
Wabula ye Kamissiona w’ebigwa tebiraze n’ebibamba mu ofiisi ya Ssabaminisita Martin Owor ategezezza nga bwebalina entekateka y’okukyusa ababundabunda bano.