
Ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsomga z’abaana ekya UNICEF kifulumizza alipoota eraze nga omuwendo gw’abaana abafa nga bato bwegukendedde n’ebitundu 50% okusinga nga bwegwali mu 1990.
Alipoota eno eraze nti emyaka 25 emabega abaana obukadde 12 nga bali wansi w’emyaka 5 bebaali bafa buli mwaka wabula nga omwaka guno bakyali obukadde 6 bwokka.
Wabula alipoota egamba yadde nga kiri kityo bingi ebikyetagisa okukolebwa okukendeza ku baana abafa.
Alipoota era eraga nga abaana 16,000 abali wansi w’emyaka 5 bwebafa buli lunaku munsi yonna nga abasinga bafa endwadde ezisobola okwewalika nga pneumonia, ekiddukano, omusujja gw’ensiri n’endala.