Bya Ruth Andera
Abantu 4 abavunanaibwa okutemula omukozi mu kitongole kyobwankyewa Maria Nagirinya neyali amuvuga Ronald Kitayimbwa olwaleero basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Mwanga 11, nebavunanibwa emisango 6 okuli obutemu, okuwamba,nobwa kkondo.
Abavunanwa kuliko Coporiyamu Kasolo omutembeeyi wengatto e Nateete, Johnson Lubega atalina mulimu nga mukozi mu Kigaga zooni e Nateete, Nassif Kalyango ne Hassan Kiseeka nga bonna bagoba ba boda boda mu Kitaka Zooni e Nateete.
Wabula omulamuzi Joel Wegoye tabaganyizza kubaako kyebogera, kubanga emisango gyabwe giwulirrwa kooti enkulu yokka.
Kati baziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutukira ddala nga 27 Sebutemba 2019 lwebanakomezebwawo nebamanya okunonyereza ku musango gwabwe wekutuuse.
Oludda oluwaabi lugamba nti emisango baajizza nga 28 August 2019 e Nabisasiro zone mu division ye Lubaga nemu district ye Mukono bwebawamba abagenzi nebabatta.
Bano babba emmotoka yomugenzi Nagirinya amasimu agomu ngalo nensimbi emitwalo 26.