Bya Juliet Nalwoga, Eby’okwerinda binywezedwa mu Kampala ne bitundu ebiriranyewo wakati w’olukugaana lw’ababaka ba palamenti b’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza olw’omulundi ogwa 64.
Abakungu abawereddala 500 be bagenda okulwetabamu era lwa kuyindira ssabiiti nnamba wali e Munyonyo, nga lugenda kwetabwamu abakubiriza ba palamenti, abamyuka baabwe n’ababaka okuva mu mawanga ag’enjawulo.
Bwabadde ayogerako eri bannamawuliire ,Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezeza ng’eby’okwerinda bwe biri ggululu.
Uganda yasemba okutegeka olukugana luno mu mwaka gwa 1967.