Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe asabye bannayuganda abamanyi abalamuzi abalya enguzi okubamulopeera
Katureebe agamba nti awulira abantu bangi nga bagamba nti abalamuzi balya enguzi kyokka nga bw’aba tamanyi mannya talina w’atandikira
Katureebe abadde ayanukula okwemulugunya okukoleddwa eyali omulamuzi George Wilson Kanyeihmba agambye nti abalamuzi bangi abaloopeddwa eri ekibiina ekigatta bannamateeka
Yye akulira abalamuzi Yorokamu Bamwine agamba nti akooye olugambo nti abalamuzi balya enfuzi nga tewali na bujulizi olwo abantu nebeerabira byonna byebakolera eggwanga