Skip to content Skip to footer

Okwo kumala budde- Mbabazi

File Photo: Mbabazi nga buza Museveni
File Photo: Mbabazi nga buza Museveni

Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi agamba nti ku bigenda mu maaso tewali kimukanga.

Mbabazi abadde ayogerako eri abawagizi be oluvanyuma lwa poliisi okusattulula olukiiko lwe agambye nti gavumenti akimanyi nti etiribira kyokka nga wakusigala ng’alwanirira enkyukakyuka

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala  n’okukuba amasasi mu bbanga okusattulula abawagizi ba Mbabazi .

 

Olutalo lwe soroti lwakedde bukeezi abawagizi ba Mbabazi bwebasanze awalina okubeera olukiiko lwaabwe ku Independence square nga poliisi eyiiriddwaawo.

Kyokka bamaze nebakkaanya nebasindikibwa ku sports grounds ate poliisi gy’ebagumbuludde

Mbabazi ayaniriziddwa abawagizi be abamuyizza mu kibuga n’okumuwerekera oluvanyuma lw’okukubwa omukka ogubalagala.

Ekisinze okukwata abantu omubabiro z’enyonyi z’amaggye ezibadde zeekaliisiza mu bbanga kyokka ng’omwogezi w’amaggye g’omu bbanga Maj Tabaro Kiconco agambye nti babadde mu kwegezaamu era kino tekibadde na kakwate ku Mbabazi.

Leave a comment

0.0/5