
Bannamateeka ba Amama Mbabazi baweze obutassa Mukono ku ky’omuntu waabwe okugenda mu maaso n’okwebuuza ku balonzi.
Nga bakulembeddwamu Fred Muwema, bategezezza nga bwebajja okukuba akakiiko k’ebyokulonda mu mbuga z’amateeka singa kagenda mu maaso n’okulemesa omuntu waabwe okwebuuza ku balonzi.
Muwema agamba Mbabazi mpaawo tteeka lyonna ly’amenya nga era ssibuvunanyizibwa bw’akakiiko k’ebyokulonda okumukkiriza okukuba enkungaana okwebuuza ku balonzi be.
Muwema agamba akawayiro namba 3 akakwata ku kulonda kwa pulezidenti kawa buli yesimbyewo eddembe okwebuuza ku balonzi omuli okukuba enkungaana.
Ono yewunyizza lwaki akakiiko k’ebyokulonda katunulidde Mbabazi yekka nekaleka abalala abakuba enkungaana.
Ye munnamateeka omukugu ku nsonga z’eddembe ly’obuntu Radislaus Rwakafuzi agamba Mbabazi waddembe okugenda mu maaso n’okwebuuza ku balonzi.
Rwakafuzi agamba amateeka mpaawo kyegogera ku nkungaana kikula ki ezirina okukwatibwa mu biseera by’okwebuuza ku balonzi okuva eri abesimbyewo kale nga akakiiko k’ebyokulonda tekasobola kuwera nkungaana.