Bya Damali Mukhaye
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni wakukuba enkambi olwaleero mu ssaza lye Kagoma okunonyeza munna NRM Moses Walyomu obululu.
Omubaka wa pulezidenti e Jinja John Rex Aachilla akakasiza nga pulezidenti Museveni bw’agenda okukuba enkungaan 2.
Mungeri yeemu ne munna FDC Dr.Kiiza Besigye yatuuse dda e Jinja okunonyeza munnakibiina Dr. Timothy Lusala akalulu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kya FDC Harold Kaija atutegezezza nti bbo batandikidde mu gombolola ye Butonto.
Abalala abesimbyewo kuliko Alex Kintu Brandon ne Muhammad Bidondole nga bano bonna tebalina kibiina.
Munna NRM Moses Walyomu yagobwa mu palamaneti oluvanyuma lwa kkooti okukitegeera nti yagulirira abalonzi.