
W’owulirira bino nga eyali ssabaminisita w’eggwanga nga kati ayagala bwa pulezidenti John Patrick Amama Mbabazi atuuse e Soroti okuva okuva e Mbale gyeyasuze oluvanyuma lw’enkungaana zeyakubye e Kapchorwa olunaku lw’egulo.
Mbabazi ayaniriziddwa abawagizi be nga era awerekeddwako bandi okuyingira mu kibuga Soroti wakati.
wabula Poliisi ye Soroti eremesezza abawagizi ba Mbabazi okukunganira mu kibangirizi kya Independence Square Mbabazi w’abadde alina okubebulizaako.
Aduumira poliisi mu bitundu bya East Kyoga Philip Acaye y’akedde ku ssaawa 12 okuyiwa abaserikale abakkakanya obujagalalo.
Enyonyi zi namunkanga era zirabiddwako nga zibukira waggulu mu bwengula bw;ekibangirizi kino .
Akulira ebyamawulire mu nkambi ya Mbabazi Maggie Lukowe ategezezza nga kati tawuni kilaka wa Soroti Emmanuel Banya bw’abawadde ekisaawe kya Sports grounds gyebagenda okukuba olukungaana lwabonna.